Jeremiah 49

Obubaka Obukwata ku Amoni

1 aEbikwata ku baana ba Amoni bye bino.

Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti,

“Isirayiri terina baana balenzi?
Terina basika?
Lwaki Malukamu atutte Gaadi?
Lwaki abantu be batutte ebibuga by’e Gaadi?
2 bNaye ennaku zijja,” bw’ayogera Mukama Katonda,
“lwe ndiraya eŋŋoma ezirangirira olutalo
ku Labba eky’abawala ba Amoni.
Kirifuuka ntuumu ya mafunfugu,
n’ebyalo ebiriraanyeewo byokebwe omuliro.
Isirayiri eryoke egobere ebweru
abo abagigoba,”
bw’ayogera Mukama Katonda.
3 c“Kaaba, ggwe Kesuboni, kubanga Ayi kizikiridde!
Mukaabe mmwe abatuuze b’omu Labba!
Mwesibe ebibukutu mukungubage.
Mudduke mudde eno n’eri mu bisenge by’ekibuga,
kubanga Malukamu alitwalibwa mu busibe,
awamu ne bakabona n’abakungu.
4 dLwaki mwenyumiriza olw’ebiwonvu byammwe,
ne mwenyumiriza olw’ebiwonvu ebigimu?
Ggwe omuwala atali mwesigwa,
weesiga obugagga bwo n’ogamba nti,
‘Ani alinnumba?’
5Ndikuleetako entiisa,
okuva mu abo bonna abakwetoolodde,”
bw’ayogera Mukama, Mukama Katonda ow’Eggye.
“Buli omu ku mmwe aligobebwa,
era tewali n’omu alikuŋŋaanya abadduka.

6 e“Naye oluvannyuma ndikomyawo nate omukisa gy’abaana ba Amoni,”
bw’ayogera Mukama Katonda.

Obubaka obukwata ku Edomu

7 fBw’ati bw’ayogera Mukama Katonda ow’Eggye nti,

“Tewakyali magezi mu Temani?
Abeegendereza babuliddwa okutegeera?
Amagezi gaabwe gaweddemu ensa?
8 gMukyuke mudduke mwekweke mu mpuku eziri ewala
mmwe abatuuze b’e Dedani,
kubanga ndireeta ekikangabwa ku Esawu,
mu kiseera bwe ndimubonerereza.
9Abanozi b’emizabbibu singa bazze gy’oli,
tebandikuleseeko mizabbibu mibale bubazi?
Singa ababbi bazze ekiro,
tebandibbye byonna bye beetaaga?
10 hNaye ndyambula Esawu mwerule;
ndizuula ebifo bye mwe yeekweka,
aleme kwekweka.
Abaana be, n’ab’eŋŋanda ze n’ab’omuliraano baakuzikirira,
era wa kuggwaawo.
11 iBamulekwa mu mmwe mubaleke, ndibalabirira.
Ne bannamwandu mu mmwe banneesige.”
12 jBw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti, “Obanga abo abatandinywedde ku kikompe bawaliriziddwa okukinywako, lwaki mmwe temubonerezebwa? Temuuleme kubonerezebwa, mulina okukinywa. 13 kNeerayirira,” bw’ayogera Mukama Katonda nti, “Bozula alifuuka matongo era ekibuga ekijjudde entiisa, ekinyoomebwa era ekikolimire, era ebibuga bye byonna biriba matongo emirembe gyonna.”

14Mpulidde obubaka okuva eri Mukama Katonda.
Omubaka yatumibwa eri amawanga okugamba nti,
“Mwekuŋŋaanye mukirumbe!
Mugolokoke mukole olutalo!”

15“Kaakano ndibafuula aba wansi ennyo mu mawanga,
abanyoomebwa mu bantu.
16 lEntiisa gy’oleeta
n’amalala g’omutima gwo bikulimbye,
mmwe ababeera mu bunnya bw’amayinja,
mmwe ababeera waggulu mu nsozi.
Wadde nga muzimba ebisu byammwe okubeera waggulu nga eby’empungu,
ndibawanulayo ne mbasuula wansi,”
bw’ayogera Mukama Katonda.
17 m“Edomu kirifuuka kyerolerwa,
abo bonna abayitawo balyewuunya batye
olw’ebiwundu bye byonna.
18 nNga Sodomu ne Ggomola bwe byayonoonebwa,
wamu n’ebibuga ebirala ebiriraanyeewo,” bw’ayogera Mukama Katonda,
“tewaliba n’omu abibeeramu;
tewali musajja alikituulamu.

19 o“Ng’empologoma eva mu bisaka by’omu Yoludaani
okugenda mu muddo omugimu,
ndigoba Edomu mu nsi ye amangu n’embiro.
Ani oyo omulonde gwe nnaateekawo akole kino?
Ani ali nga nze era ani ayinza okunsomooza?
Era musumba wa ndiga ki ayinza okunjolekera?”
20 pNoolwekyo, muwulire Mukama Katonda kyategese okuleeta ku Edomu,
kyategekedde abo abatuula mu Temani.
Endiga ento mu bisibo za kuwalulwa,
alyonoonera ddala ebisibo byazo ku lwabwe.
21 qBwe baligwa ensi erikankana,
emiranga gyabwe giriwulirwa mu Nnyanja Emyufu.
22 rLaba, alibuuka mu bire ng’empungu n’atumbiira,
n’alyoka akka ng’ayanjululiza ebiwaawaatiro bye ku Bozula.
Ku lunaku olwo emitima gy’abalwanyi ba Edomu
giribeewanika ng’ogw’omukazi alumwa okuzaala.

Obubaka ku Damasiko

23 sEbikwata ku Damasiko:

“Kamasi ne Alupaadi biweddemu amaanyi,
kubanga biwulidde amawulire amabi.
Bakeŋŋentereddwa,
batabuddwa ng’ennyanja esiikuuse, tebasobola kutereera.
24Ddamasiko ayongobedde,
akyuse adduke
era okutya kumukutte;
obubalagaze n’obuyinike bimunyweezezza,
obulumi nga obw’omukazi alumwa okuzaala.
25Lwaki ekibuga ekimanyiddwa tebakidduse,
ekibuga mwe nsanyukira?
26 tDdala abavubuka baakyo baligwa mu nguudo,
n’abalwanyi baakyo bonna ku olwo baakusirisibwa,”
bw’ayogera Mukama Katonda ow’Eggye.
27 u“Ndiyokya bbugwe wa Ddamasiko omuliro;
gwakumalawo n’embiri za Benukadaadi.”

Obubaka ku Kedali ne Kazoli

28 vBino bye bikwata ku Kedali n’obwakabaka bwa Kazoli, obwalumbibwa Nebukadduneeza kabaka w’e Babulooni.

Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti,

“Golokoka, olumbe Kedali
ozikirize abantu be bugwanjuba.
29 wWeema zaabwe n’ebisibo byabwe bya kutwalibwa;
enju zaabwe ziryetikkibwa
n’ebintu byabwe byonna n’eŋŋamira zaabwe.
Abasajja balibakanga nga bawowoggana nti,
‘Akabi kavudde ku buli ludda!’

30“Mudduke mwekukume mangu!
Mubeere mu mpuku empanvu, mmwe abatuuze b’omu Kazoli,”
bw’ayogera Mukama Katonda.
“Nebukadduneeza kabaka w’e Babulooni abasalidde olukwe;
ategese okubalumba.

31 x“Golokoka olumbe eggwanga eriri mu ggandaalo,
eriri mu kweyagala,”
bw’ayogera Mukama Katonda,
“eggwanga eritalina miryango gisibwa wadde ebyuma;
abantu baalyo babeera awo bokka.
32 yEŋŋamira zaabwe zaakunyagibwa,
n’amagana gaabwe amanene gatwalibwe.
Ndibasaasaanya eri empewo, abo abali mu bifo eby’ewala,
mbaleeteko akabi okuva ku buli ludda,”
bw’ayogera Mukama Katonda.
33 z“Kazoli alifuuka kifo kya bibe,
ekifo eky’amatongo eky’emirembe n’emirembe.
Tewali alikibeeramu;
tewali muntu alikituulamu.”

Obubaka ku Eramu

34 aaKino kye kigambo kya Mukama Katonda ekyajjira nnabbi Yeremiya ekikwata ku Eramu, nga Zeddekiya kabaka wa Yuda kyajje alye obwakabaka.

35 abBw’ati bw’ayogera Mukama Katonda ow’Eggye nti,

“Laba, ndimenya omutego gwa Eramu,
amaanyi gaabwe mwe gasinga okwesigibwa.
36 acEra ndireeta ku Eramu empewo ennya,
okuva mu bitundu ebina eby’eggulu;
ndibasaasaanyiza eri empewo ezo ennya,
era tewaliba nsi n’emu
abawaŋŋanguse ba Eramu gye bataliddukiramu.
37 adNdimenyeramenyera Eramu mu maaso g’abalabe be,
mu maaso gaabo abamunoonya okumutta;
ndibatuusaako ekikangabwa,
n’obusungu bwange obungi ennyo,”
bw’ayogera Mukama Katonda.
“Ndibawondera n’ekitala
okutuusa lwe ndibamalirawo ddala.
38Nditeeka entebe yange ey’obwakabaka mu Eramu
era nzikirize kabaka we n’abakungu be,”
bw’ayogera Mukama Katonda.

39 ae“Wabula ekiseera kijja,
lwe ndiddiramu Eramu,”
bw’ayogera Mukama Katonda.
Copyright information for LugEEEE